Essuubiryo Zambogo Sacco Ltd kitongole kya Bwakabaka bwa Buganda, era ye Sacco y’obwakabaka bwa Buganda nga yevunanyizibwa ku kuzimba ekittavvu [Financial institution] nga abantu ba Buganda be bannanyini kyo.

Guno gwe mutendera ogusooka munteekateeka eno era twaniriza buli muntu ayagala okutambulira awamu naffe mu lugendo luno.

Sacco eno yatandikibwa mu mwaka 2011 era kati wetwogerera abantu ba Buganda bangi batwettanide nga kati tulina ba mmemba abasobola mu nkumi ttaano.

EMIRIMU GYETUKOLA

  • Tutunda emigabo
  • Tutereka ensimbi
  • Tuwola ensimbi ku magoba amasaamusaamu

OKWOLESEBWA
Okuzimba ekkittavu nga abantu ba Buganda be bannanyini kyo.

EKIRUBIRIRWA
Okuwa abantu ba Buganda ne Uganda obuyambi bw’ensimbi ku magoba amatonotono.

EMIRAMWA EGYATANDISAAWO SACCO ENO

  • Okuzimba ekittavvu nga kya Bwakabaka bwa Buganda era nga abantu ba Buganda bebananyinikyo.
  • Okukolera bannanyini kittavvu amagoba.
  • Okuyigiriza n’okusomesa abantu ba Ssaabasajja Okwetereka ensimbi.
  • Okuyamba abantu ba Buganba okutandikawo emirimu okusingira ddala abavubuka.
  • Okutondawo obwa sseruganda mu bantu ba Beene.
  • Okuwola bammemba ku magoba amatonotono.

OKUGULA EMIGABO
Omuntu afuna obwannanyini mu kittavvu kino ng’ayita mu kugula emigabo era nga buli mugabo gwa silingisi omutwalo gumu [10,000/=]. Emigabo gikola amagoba, omuntu gyakoma amagoba mu migabo gye.